Amawulire
Obubaka obukulembeddemu olunnaku lwamaaso
Bya Prosy Kisakye ne Benjamin Jumbe
Uganda eri mu ntekateeka, okwegatta kunsi yonna okukuza olunnaku lwa World Sight Day olukwatibwa buli nga 14 Okitobba.
Palamentti esabiddwaokuyisa ebbago erya Organ Transplant Bill, liyambeko mu byobujanjabi nemirimu gyokujjulula ebitundu byoubiri.
Dr. Patrick Luwaga amyuka akulira eddwaliro lye Mengo agambye nti obutaberawo bweteeka kivuddeko ebikolwa ebimenya amateeka nokufa kwabantu.
Agambye nti mu Uganda, obwetaavu bwokukyusa ebitundu byomubiri bweyongedde, ngabalwadde omutwalo mulamba bebetaaga obujanjabi buno buli lunnaku, wbaulanga tewaliiwo tteeka okulungamya.
Mu kujaguza olunnaku lwamaaso, eddwaliro ly’eMengo litegese obujanjabi obwobwerere okuli okukebera amaaso nebirala.
Mungeri yeemu gavumenti eyongedde okukola obweyamu, okulongoosa ebyobujanjabi.
Akulira ebyobujanjabi mu minisitule yebyobulamu Dr Charles Olaro agambye nti gavumenti eriko amakubo agenjawulo gegenda okuyitamu okutereeza ebyobujanjabi.
Ku byobujnjabi bwamaaso, agambye nti baakuyita mu ntekateeka eyomulundi ogwokutaano eya 2021/2025 eye health guidelines okulungmya ebyobujanjabi.
Agambye nti bagenda kubaga ebbago erya tissue transplant bill era linaaba lijiddwako engalo, ku nkomerereo yomwaka guno.
Amyuka kamisona, owabaliko obulemu Dr Stanley Bubikire agambye nti ekitundu kya Karamoja ne Busoga byebimu ku bisingamu ebirwadde byamaaso.
Okusinziira ku kunonyereza okwakolebwa mu 2012/214, Uganda erina abantu obukadde 2 nekitundu abalin obulemu ku maaso ngabantu emitwalo 14 mu 4,000 bebazibe tebalabira ddala.