Amawulire
Obuganda busomye embalirira
Olukiiko lwa Buganda lusomeddwa embalira ya buwumbi 7 mu myezi omukaaga,egyisooka mu mwaka gw’ebyensimbi 2013/2014. Bwabadde asoma embalirira eno , omuwanika wa Buganda owek. Eva Nagawa, agambye nti ensimbi ezisinga obungi zaakuva mu kitongole kya Buganda land board n’okutunda certificate.
Eva Nagawa era ategezeza nti basuubira okufuna ensimbi obuwumbi bubiri n’ekitundu ku nsimbi Buganda z’ebanja government eyawakati mu mwezi omukaaga.
Wabula ow’ekitiibwa ategezeza nti ensmbi eziyingira mu Gwanika lya Buganda zeeyongedde okukendera era nga ku buwumbi 38 obwasuubirwa mu myaka 2012/2012 baafunako obuwumbi 8 bwokka.
Yye Katikkiro wa Buganda Ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga, asabye bannakampala beegatte ku KCCa mu kubawagira mu nteekateeka zaabwe ez’okulakulanya ekibuga.
Katikkiro awagidde ebikwekweto bya Police ku masundiro ga mafuta agamerukawo buli lukya mu ngeri emenya amateeka, nokukwaata ebimotoka by’amafuta ebitalina bisaanyizo nti kino kyakuyamba okutaasa ekibuga akabi.
Wabula agamba bino byonna bisaana okukolebwa nga KCA emaze kwebuuza n’okulabula b’ekikwatako okwewala okufiirizibwa.
Ow’ekitiibwa era akuutidde abasiraamu okusabira enyo Ssabasajja Kabaka wa Buganda mu kisiibo kye balimu, asobole okukwasaganya obulungi emirimu gy’alina.