Amawulire
Obukiiko bw’ebyaalo buyambibwe
Ebibiina by’obwa nakyeewa bisabye gavumenti okwongera amaanyi mu bukiiko bw’ebyaalo obukola ku byobulamu
Omukugu mu nsonga z’okulondoola ebikolebwa mu kibiina kya Pathfinders Caroline Ssekikubo agambye nti obukiiko buno bukola omulimu gwa maanyi okuwereeza abantu ku mitendera gya wansi.
Ono agamba nti okuva mu mwaka gwa 2011, obukiiko buno bubadde bukola wansi w’enkola eya bulungi bwa nsi nga keekadde bulowoozebweeko ku nsonga z’omusaala.