Amawulire
Obulabirizi bwé Mukono bufunye Omulabirizi omuggya
Bya Prossy Kisakye,
Rev. Canon Enos Kitto Kagodo alondeddwa okubeera Omulabirizi ow’okutaano mu bulabirizi bw’e Mukono ng’adda mu bigere by’Omulabirizi James William Ssebagala.
Ekanisa ya Uganda yakakasa okuwummula kwa Ssebagala mu March, omwaka oguwedde, oluvannyuma lw’okuweza emyaka 65 egy’ekiragiro kye kanisa abaweereza kwebalina okuwummulira.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa omuwandiisi w’essaza kya kampala, Rev. Canon Captain William Ongeng, Omulabirizi omuggya agenda kutukuzibwa ku ntebe nga 26th February 2023 mu Lutikko ya St. Philip’s and Andrew’s, mu disitulikiti y’e Mukono.
Mu kiseera kino yabadde Provost wa Lutikko ya St. Philip’s ne Andrew’s Cathedral e Mukono.
Rev. Kagodo yatuuzibwa mu budyankoni nga 9th June 2002 mu bulabirizi bw’e Mukono n’oluvannyuma n’afuulibwa omwawule nga 12th December 2004.
Mungeri yeemu Ekanisa ya Uganda elonze Rev. Onesimus Asiimwe, omulabirizi ow’omukaaga mu bulabirizi bwa North Kigezi.
Rev. Asiimwe agenda kutukuzibwa ku bwa Bishop nga 12th March 2023 mu Lutikko ya Emmanuel, Kinyansano, Rukungiri.
Mu kiseera kino Rev. Onesimus ye Chaplain wa St. Francis Chapel, Makerere University, Nga tannatuuka ku kifo kino, yaweereza nga omukwanaganya w’abavubuka n’abayizi