Amawulire
Obulwadde bwa mukenenya bukendedde
Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’amawanga amagatte ku bulwadde bwa mukenenya eraga nti bukenderedde ddala.
Abantu abaafa omwaka oguwedde baali akakadde kamu mu emitwaalo 60 okwawukanako n’omwaka gwa 2005 abantu obukadde bubiri mu emitwaalo 30 mwebafiira
Mu ngeri yeemu n’omuwendo gw’abantu abafuna ekirwadde kino gukenderedde ddala
Bwegutuuse ku baana abato abafuna obulwadde buno ate kiyitiridde nga kumpi kitundu kiramba kitaasiddwa
Mu mwaka oguwedde, abaana abataweza na kitundu kya kakadde beebakwatibwa ekirwadde kya mukenenya.
Eky’abantu abafa mukenenya okukendeera kisiddwa ku bantu okufuna obujjanjabi nga bukyaali kko n’abakyala abali embuto okumira eddagala.
Wabula eb’ekibiina ky’amawanga amagatte bagamba nti tewasaanye kubaamu kulagaya obulwadde buno bwebunaaba bunakenderera ddala.
Alipoota eno egenze okufuluma nga bannamateeka mu ggwanga bagala gavumenti eyimirize ebbago ly’etteeka ku bulwadde bwa mukenenya
Etteeka lino ligendereddwaamu kukaliga bantu bantu basiiga bannaabwe mukenenya mu bugenderevu.
Omusomesa ku ttendekero ekkulu e Makerere, Busingye Kabumba agamba nti ebbago lino ssinga lifuuka etteeka kyakukosa olutalo ku mukenenya olubadde lutambula obulungi.
Ono agamba nti okukaka abantu okwekebeza siriimu nakyo kirinyirira eddembe ly’abantu
Ebibiina ebirwanyisa obulwadde bwa mukeenya byebyasooka okusimbira ekkuuli etteeka lino lyebagamba nti lyakwongera okuboolesa abantu abalina mukenenya.