Amawulire

Obulwadde obugambibwa okubeera Ebola busse owa Boda

Ali Mivule

July 31st, 2014

No comments

Ebola scare

Ekirwadde  ekyefananyiriza  ekya Ebola kisse omuvuzi wa bodaboda mu ddwaliro ly’e Kitgum ennaku 2 nga y’akaweebwa ekitanda  mu ddwaliro lino.

Akulira okulondoola endwadde ez’enjawulo mu minisitule y’ebyobulamu , Dr. Issa Makumbi akakasizza okufa kw’omuntu ono wabula n’ategeeza nga bwebakyagenda maaso n’okwekebejja omusaayi gw’omugenzi okwongera okuzuula ddala kiki ekimusse.

Makumbi agamba baakuvaayo n’ekiwndiiko ekirambulukufu ku bizuuliddwa amangu ddala nga bamaze okunonyereza.

Ekirwadde kino kireetera omuntu omusujja ogw’amaanyi ssaako n’okuva omusaayi mu bitundu by’omubiri ebyenjawulo.

Ebola yakoma okubalukawo mu ggwanga mu disitulikiti ya Agago mu bukiikakkono  bw’eggwanga nga abantu 10 beebaafa.

Bino webigyidde nga Ebola y’akatta abantu abasoba mu 600 mu bugwanjuba bwa Africa.

Mu ggwanga lya Liberia gavumenti y’eggwanga lya Liberia eragidde amasomero gonna gaggalwe okusobola okulwanyisa ekirwadde kya Ebola ekiwanise amatanga mu ggwanga lino.

Okusinziira kun kibiina ky’amawanga amagatte ,Ebola y’akatta abantu 672 mu bugwanjuba bwa Africa.