Amawulire

Obumenyi bw’amaateeka bukendedde

Obumenyi bw’amaateeka bukendedde

Ivan Ssenabulya

May 27th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi efulumizza alipoota yaayo, ku bumenyi bwamaateeka eya buli mwaka, era egamba nti obumenyi bwamaateeka bukendedde.

Ebibalo biraze nti obumenyi bwmaateeka bukendedde ne 5.2% mu 2018, mugerageranya ku mwaka guli ogwayita 2017.

Bwabadde atongoza alipoota eno ssabapoliisi we gwanga Martins Okoth Ochola agambye nti emisango emitwalio 23 mu 8,746 gyebafuna mu 2018 songa mu 2017 baafuna emisango emitwalo 25 mu 2,065.

Kati ku misango gino emitwalo 7 mu 3,035 baajikolako, era nejituuka mu kooti okuwozesebwa.

Kati ku gino emitwalo 2 mu 2,263 gyalamulwa, 1,248 baabegyereza, omutwalo 1 mu 1,121 baajigoba, emitwalo 3 mu 8,425 gikyali mu kooti.

Wabula ssabapoliisi agambye nti wabaddewo okweyongera mu misango gyobutemu, okukaka omukwano, okumenya amayumba, obwa kkondo, egye najaga negyekuusa ku byobufuzi namawulire.

Kati ku butemu obubaddewo nebuwnikirza egwanga, mu 2018, ayogedde ku butemu obwakolebwa ku Susan Magara, Ibrahim Abiriga, eyali omudumizi wa poliisi e Buyende Muhammad Kirumira, nekiwamba bantu 15 era oluvanyuma bebatemula.