Amawulire

Obumenyi bw’amateeka bweyongedde-Alipoota

Obumenyi bw’amateeka bweyongedde-Alipoota

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi etegezezza nga bwewabaddewo okweyongera mu bumenyi bwamateeka kwa 0.1% mu mwaka gwa 2021, bwogergeranya ku misango gyebafuna mu 2020.

Mu alipoota ya poliisi ekwata ku bumenyi bwamateeka eyomwaka baafunye emisango emitwalo 19 mu 6,081 mu 2021 ngagiri waggulu kugya, emisango emitwalo 19 mu 5,931 mu 2020.

Bwabadde afulumya alipoota ekwata ku bumenyi bwamateeka eya 2021, Ssabapoliisi wegwanga Martins Okoth Ochola akitadde ku mbeera eyali mu gwanga eyomuggalo gwa ssneyiga omukambwe atenga oluvanyuma egwanga lyaggulwawo.

Wabula agambye nti bagenda kwongeramu amaanyi okudda mu bantu, okunyweza enkola ya poliisi n’omuntu wabulijjo.

Wabula mu alipoota yeemu, mu mwaka gwa 2021 wabaddewo okudirira kwa 0.74% mu misango gyobutabanguko mu maka.

Emisango gyobutabanguko gyakendedde okuva ku misango omutwalo 1 mu 7,553 mu 2020 okudda ku misango omutwalo 1 mu 7,533 mu 2021.

Mungeri yeemu, alipoota ya poliisi ku bubenje eraze nti boda boda zezasinga okutta abantu mu bubenje bwokunguudo.

Pmugatte abagoba ba boda boda 1,390 bebafiira mu bubenje ngomuwendo gwali waggulu nnyo, ku bubenje 200 obwagwawo omwaka guli ogwayita

Abasabaze 528 bebafiira mu bubenje mu mmotoka ezisabaza abantu tenga mu 93 bebafa mu 2020.

Lawrence Nuwabiine, akolanga akulira poliisi yebidduka mu gwanga alabudde nti obubenje bwa pikipiki bugenda kweyongera ssinga tewaberewo ekyamangu ekikolebwa.

Obubenj obusinga bwava ku kuvugisa kimama nandiima.