Amawulire

Obumenyi bwámateeka bweyongedde mu ggwanga-Alipoota ya Poliisi 2022

Obumenyi bwámateeka bweyongedde mu ggwanga-Alipoota ya Poliisi 2022

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Poliisi egamba nti wabaddewo okweyongera kw’obungi bw’emisango egilopebwa embuga mu mwaka oguwedde n’ebitundu 18 ku 100 bwogerageranya nebwegwali omwaka mulamba emabega.

Obungi bw’emisango egyaloopebwa mu 2022 gyawerera ddala emitwalo 23 mu 1,653 bwogerageranya  n’emitwalo 19 mu 6,081 mu 2021.

Ng’ayogerera mu kutugonza alipoota eno ku kitebe kya Poliisi Naguru, Omuduumizi wa Poliisi mu gwanga Martins Okoth Ochola ategeezeza nga ku gino emisango emitwalo 6 mu 8000 mu 405 gyatwalibwa mu court ate emilala emitwalo 2 mu 6,749 bwegitandoolebwa bawaabi.

Emilala emitwalo 13 mu 6,499 n’okutuusa kati gikyanoonyerezebwako.