Amawulire
Obusumba bw’e Hoima bufulumizza enteekateeka y’okuziika abadde omusumba eyawummula
Bya Mike Sebalu. Obusumba bw’e Klezia Katolika e Hoima bufulumizza enteekateeka y’okuziika eyali omusumba w’obusumba bw’e Hoima Edward Albert Baharagate.
Omugenzi Baharagate yafa ku lunaku lwakusatu nga 05/04/2023 mu dwaliro e Nsambya ku gy’obukulu 93.
Okuva ku lunaku lw’eyafa, omulambo gwe gubadde gukuumirwa mu gwanika mu dwaliro e Nsambya.
Kati Chaplain w’ekibiina ki Hoima Diocese External Residents Association (HOIDERA), Father Aiden Kasujja, agamba nti omugenzi Baharagate wakuziikibwa ku lunalu kw’okusatu nga 12/04/2023 ku lutikko e Hoima ku saawa munaana oluvanyuma lw’ekitambiro kya missa ku saawa 5 ez’okumakya.
Ku lunaku lwa balaza, wategekeddwawo okusabira omwooyo gw’omugezi ku lutikko e Rubaga.
Chaplain wa Hoima Diocese External Residents Association (HOIDERA), Father Aiden Kasujja, agamba oluvanyuma lw’okusabira omugenzi, omulambo gwe gugenda kutwalibwa e Masindi ku St Jude Town Church ku saawa 12 era nga gyegugenda okusula.
Ku lunaku lw’okubiri, omulambo gwe gwakutwalibwa ku kigo e Nyamikisa awategekeddwa missa ku saawa 4 ez’okumakya.
Oluvanyuma, omulambo gwakutwalibwa e Hoima ku lutikko gyegunasula olwo ku lwokusatu wategekeddwawo ekitambiro kya missa ku saawa 5 ez’okumakya n’oluvanyuma omubiri gw’omusumba Baharagate guziikibwe ku saawa 8 ku lutikko e Hoima.
Omugenzi yajjibwa mu kigo e Nakulabye emyaka ebiri egiyise natwalibwa e Hoima ng’omubiri gutandise okunafuwa oluvanyuma lw’okukulungulawo emyaka egiri wakati wa 20-25
Obuweereza bwa Eklezia yabutandika mga 7/12/1958, oluvanyuma nalondebwa ng’omusumba wa Hoima nga 7/7/1969 ate natuuzibwa nga 01/08/1969. Paapa Paul VI yeyakola omukolo ogw’okumutuuza.
Nga 9/03/1991, Omusumba Baharagate kati omugenzi, yalekulira obuweereza era omusumba Deogations Byabazaire namuddira mu bigere.
Omwaka oguwedde, yatongoza kawefube w’okutaasa obutonde. President Museveni, yakukyalirako gyebuvuddeko e Masindi, bweyabadde agenze okuggulawo mu butongole woteeri emu mu kibuga Masindi