Amawulire
Obutaala bwa Solar bulunji mukukwata ebyényanja- Okunoonyereza
Bya Mike Sebalu. Waliwo okunoonyereza okukoleddwa banna Science okukizudde nti okukozesa obutaala obukozesa amasanyalaze aga solar mu kuvuba bwekitalina bulabe ate nga kitaakiriza nóbutonde bwénsi eri abavubi ku Nyanja eya Muttanzige wamu ne Nalubaale.
Obutaala obukozesebwa mu kuvuba emirundi mingi buyambisibwa mu kuvuba ebyneyanja nga mukene nébilala ebigwa mu tuluba elyo.
Omwaka oguwedde, enkozesa yóbutaala buno yali yayimirizibwa, oluvanyuma lwábavubi okwekubira enduulu nga bwebaali bafunye okutya nti bwandikozesebwa okuvuba ebyényanaja ebinene ebikyali ebito omuli semutundu némpuuta.
Kati okusinziira kunoonyereza okukoleddwa aba National Fisheries Resources Institute, kizuuliddwa nti okuvuba ngókozesa obutaala obukolera ku maanyi génjuba bwekitalina mutawaana gwonna eri ebyényanja némbeera embeera yetooloddewo.
Commissioner avunanyizibwa ku masanyalaze agatakosa buttonde mu Ministry yébyámasanyalaze Dr Brian Isabirye, ategeezezza nga ekifuula amasanyalaze gano agénjawulo nti tegalina bukyaafu bwegateeka mu Nyanja.
Wabula agamba nti sibakwanguwako kuwera nkozesa yóbutaala obukozesa abafuta wabula bakufuba okulaba nga basomesa abavubi okukyusa bade ku nkola yámataala ga solar basobole okuvuganya ku katale.
Obuvubi mu gwanga buyingiza ensimbi mu gwanika ezikola ebitundu 12 ku 100.