Amawulire

Obutujju- amaggye ne poliisi bakufuukuzza ekibuga

Ali Mivule

July 3rd, 2014

No comments

  terror threats real

Kyaddaaki ekikwekweto ky’ebyokwerinda  ekikoleddwa amagye n’apoliisi okwetolola ekibuga Kampala kikomekerezeddwa.

Ebyasoose byalaze nga bwekikoleddwa olw’abatujju abaatisizza okulumba ekibuga ,ate  okuvaako mu nsonda z’amagye netukitegera  nti kuno kubadde kukebera kwabulijjo okwongera okunyweza eby’okwerinda mu kibuga.

Amagye ne poliisi erwanyisa obutujju bakedde kufuuza  kumpi mu buli kizimbe  nga abasinga bwebatunula okulaba ekigenda maaso.

Nga basimbye enyiriri basokedde ku Namirembe Road , nebadda ku kizimbe kya, Qualicel bus terminal, baabo mu paaka ya baasi eyomu kisenyi, Arua park, n’ebizimbe ebirala okutuuka ku kibangirizi kya KCCA.

N’okutuusa kati mpawo kitongole kyaby’ebyokwerinda kyavuddewo mu butongole okutegeza kiki ekibadde ekigendererwa ky’ekikwekweto kino.

Bbo abantu abenjawulo basanyukidde enkola eno.