Amawulire
Obuwumbi 6 President bwawadde KCCA okuziba ebinnya bukyali butono
Bya Mike Sebalu. Akulira entambuza y’emilimu mu kibuga Kampala Dorothy Kisaka mu mativu nti ensimbi obuwumbi 6 omukulembeze w’eggwanga bwalagidde Minisitule y’ensimbi ebawe nga si kitundu ku mbalirira yabwe eya buli mwaka ey’obuwumbi 26, bujja kubaako webubatuusa mu kawefube gwebagenda okutandikako ow’okuziba ebinnya wadde nga zikyaali ntono bwogerageranya n’okusomoozebwa kweboolekedde.
Mu nsisinkano bano gyabaabadde n’omukulembeze w’eggwanga olunaku lwa ggyo mu maka gw’obwa President Entebbe, President yalagidde Ministule y’eby’ensimbi buli luvanyuma lwa myezi 3 ewe KCCA obuwumbi 6 nga zakukola nga kuziba binnya makubo ga Kampala kyokka.
Ng’ayogerako ne Dembe FM enkya ya leero, Dorothy Kisaka ategeezezza nga President bwaliko ebilagilo ebirara bingi bayisizza naye ng’essira balitadde nnyo ku mbeera y’amakubo mu Kampala, mangi ku go nga gabadde gafuuse ebisinde by’ente.
Agamba nti wadde nga nazo zilabika ng’entono, naye bwezinagenda nga zibawebwa buli luvanyuma lwa myeezi egyo 3, balina essuubi nti bajja kubaako webatuuka mu kutuusa ekibuga webakyaagala mu biseera eby’omumaaso.
Sabiiti eno, banna Uganda bagenze ku mikutu gi mugatta bantu nebalaga enkumuliitu y’ebinnya ebifumbekedde mu Kampala, ekibuga ekikulu eky’eggwanga.