Amawulire
Obuyambi bukyetaagisa eri ababundabunda
Bya Felix Ayinebyoona
Ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku nsonga z’ababundabunda nga kyegatidde wamu ne Gavumenti bisabye ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’emmere ki WFP okuwa ababundabunda emmere yonna eyetaagisa mu banga ery’emyeezi omukaaga egigenda okuddilira.
Amyuka akulira enkambi y’ababunda bunda esangibwa e Rubondo mu Nakivale settlement camp Justine Gonza ategeezezza ab’amawulire nga abantu abali eyo mu mitwalo 2 mu 524 abateekebwa mu kiof kino nga 28/03 bwebakyasanze okusomoozebwa kw’emmere ebawebwa ebeera wansi weeyo erina okutandikirwako.
Akulira ofiisi y’ekiotngole ki UNHCR mu kitundu ekyo Lachin Hasanova ategeezezza nga ababunda bunda abapya abatwaliddwa mu kitundu kino bafunye okusomoozebwa kw’eby’okulya nga kizibu okubeerawo n’obutono bw’emmere ebawebwa.
Akola ng’akulira entambuza y’emilimu mu kifo kino ku lwa offiisi ya Ssabaminister Polyne Irene Abina ategeezezza nga okuva nga 28-03, bakasenza ababunda bunda abali eyo mu mitwalo 2 mu 2000.
Abina agamba nti bakyeyongera okufuna abantu abalala wabula nategeeza nga webwaliwo entegeka ey’abantu bano batandika okwekwelimira emmere kikendeeze ku mbeera eriwo mu kiseera kino.