Amawulire
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Omugenzi Dr Kawanga Ssemogerere
Bya Prossy Kisakye,
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omugenzi Dr Paul Kawanga Ssemogerere ayogedwako ngomusajja abadde Omukulembeze era munnabyabufuzi omukakakamu.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo, Omumyuuka asooka owa Katikkiro, Dr Twaha Kawaase, agambye nti obwakabaka bwa Buganda busaaliddwa nyo olwokufa kwa Dr Ssemogerere.
Ono agamba nti olwobukakakamubwe Ssabasajja Kabaka yasiima mu mwaka gwa 2020 namuwa ne jinja eryomuwendo okumwebaza okuba omukulembeze ate munnabyabufuzi omukukunavu wabula omukakamu ate nga awuliriza bannabuabufuzi okuva mundowooza ze byobufuzi ezenjawulo.
Ayogedwako ngómu kubakola enyo okulaba nti Uganda okutuuka ku bwetwaze songa ne kumatikira ga ssabasajja kabaka mu 1993 yeyali sentebe wolukiiko olwategeka omukolo guno.