Amawulire
Obwavu bweyongedde mu bantu n’ebitundu 75%
Bya Juliet Nalwooga
Alipoota ya banka yensi yonna eraze nti wabaddewo okweyongera mu bwavu kwa 75% mu myaka 25 ejiyise.
Kino bagambye nti okusinga kibadde mu mawanga agakyakula nagalai waddewaddeko mu byenfuna oba middle-income countries.
Alipoota eno bajituumye, “Poverty and shared prosperity 2020”: nga kitereddwa kungeri ssenyiga omukambwe gyeyakosaamu emirimu.
Mingi gyagotaana, abaali bakola nebadda mubwa ssemugayaavu, okufuna ekyokulya nga bawamma kiwamme, olwo obwavu nebutandika kubafumukakao ngavvu.
Ebibalo biraze nti ku buli maka ga mirundi 3, amaka gamu tegakyalina wadde ka business kebakola okujjamu ssente.
Ebiralala ebyavuddeko obwavu, ngojeeko ssenyiga omukambwe kuliko entalo, enkyukakyuka yobudde nebirala.