Amawulire

Odinga awakanyiza ebyavudde mu kulonda

Odinga awakanyiza ebyavudde mu kulonda

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa ne Benjamin Jumbe,

Akulira omukogo gwe byobufuzi ogwa Azimio la Umoja, Raila Odinga, awakanyiza ebyalangiridwa ssentebe wa kakiiko ke byokulonda ku Kenya.

Ssentebe wakakiiko Wafula Chebukati yalangiridde owomukago gwa Kwanza William Ruto, ngomuwanguzi era pulezidenti wa Kenya omulonde bweyakukumbye obululu obukola ebitundu 50.49% ate Raila Odinga 48.85%.

Mu kwogerako eri abawagizbe omulundi ogusookedde ddala oluvanyuma lwokuwangulwa Raila agambye nti ebyalangiridwa Chebukati sibituufu kuba temuli mazima.

Ono agambye nti wakuyita mu mateeka awakanya obuwanguzi bwa Ruto.

Odinga avumiridde ebikolwa bya ssentebe wa kakiiko ke byokulonda Chebukati, byayogeddeko nga ebyobuswavu abiyisa olugaayu mu ssemtaeeka.

Wabula akunze abawagizibe okusigala nga bakakamu bakuume emirembe.

Ba-kamisona 4 okuva mu kakiiko ke byokulonda mu ggwanga lya Kenya abawakanyiza ebyabaliddwa bategezeza nti wabadewo obutagoberera mateeka ge byokulonda mu kulangirira omuwanguzi kuntebe eyobwa pulezidenti.

Mu kwogerako ne bannamawulire bano nga bakulembedwamu amyuka ssentebe wa kakiiko ke byokulonda, Juliana Cherera, bategezeza nti Chebukati obululu bweyalangiridde bwabadde businga omuwendo gwa bantu abalonda.