Amawulire
Odoki abadadde kkooti- tekinnumye
Eyali ssabalamuzi w’eggwanga Benjamin Odoki agamba nti eky’obutamwongera kisanja mu kifo kino tekimulumye kubanga yakola dda erinnya lye.
Kkooti etaputa ssemateeka esazeewo nti eby’okwongera Odoki ekisanja bivvoola ssemateeka kubanga yakoona dda emyaka 70 egyogerwaako ssemateeka omukozi wa gavumenti okuwummulirako
Mu mboozi eya kafubo ne Dembe FM, Odoki agambye mukakafu nti eggwanga aliwerezza bulungi era nga mwetegefu okulaba anamuddira mu bigere.
Ono agamba nti ekikulu ggwanga kubanga nga teyejjusa mirimu gye
Bbo ababaka ba palamenti baanirizza ekisaliddwaawo kkooti ya ssemateeka nga bagamba nti kyongedde okukuuma ssemateeka.
Ababaka okubadde Joseph Ssewungu, Mariam Nalubega ne Bernard Atiku bagamba nti kibe kyakuyiga eri abakulira eggwanga lino ni ssemateek alina okussibwaamu ekitiibwa
Yye nno eyali omulamuzi mu kkooti y’okuntikko George Kanyeihamba agamba nti musanyufu nti waliwo abantu abeefunyiridde ku kutaasa ssemateeka
Bbo bannakibiina kya DP bagamba nti omulundi omulala abakulembeze ab’okuntikko bandibadde tebayisa maaso mu palamenti kubanga yabalabula
Odoki abadde ssabalamuzi okumala emyaka 12