Amawulire
Ogwa bannamawulire abaakubwa gutandise
Okuwulira omusango gwabannamawulire abaatulugunyizibwa aduumira poliisi ya Old Kampala Joram Mwesigye gwongezeddwayo okutuusa nga 18 omwezi ogujja.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Sanyu Mukasa y’ayongezzaayo omusango guno oluvanyuma .
Omuloamuzi asoose kuwulira bujulizi bwa munnamawulire Joseph Settimba ategezezza nga omuserikale ono bweyamuyuliza empale ssaako n’okwonona kamera ye ate n’adda ne ku munne Andrew Lwanga n’amukuba ne waya.
Empale enjulifu na kamera eyayononebwa nabyo bireeteddwa nga ebizibiti mu kkooti.
Mwesigye avunanibwa kukuba n’alumya bannamawulire 2 n’okuboononera kamera zaabwe nga bakola emirimu gyabwe bwebaali bakwata amawulire g’abavubuka ab’eyita abatalina mirimu abaali bekalakaasa.