Amawulire

Ogwa basiraamu gugenze mu kkooti enkulu

Ali Mivule

February 10th, 2015

No comments

Abakulembeze b’abayisiraamu  18 abavunanibwa okutta bakulu banaabwe bongeddwayo mu kkooti enkulu okutandika okuwulira omusango gwabwe.

 

Bamaseeka bano baleeteddwa mu kkooti ye Nakawa amakya galeero nga era omuwaabi wa gavumenti  Anne Ntimba  ategezezza omulamuzi w’eddaala erisooka  Timothy Lumunye  nga okunonyereza ku musango guno bwekwawedde naye kwekubongerayo mu kkooti enkulu.

 

Muslim clerics go missing

Mu bakwate kuliko n’akulira abatabuliki b’omuzikiti gwe  Nakasero Sheikh Yunus Kamoga nga kati baddiziddwayo ku meere e Luzira okutuusa olutuula lwa kkooti olujja.

Mungeri yeemu 11 ku bano baguddwako emisango emipya okuli okuwagira wamu n’okuwandiisa abayeekera ba ADF.

Bano kuliko  Sheik Moody Bukenya nga baakudda mu kkooti ye Nakawa okubasomera emisango gino nga  February 26th  kubanga okunonyereza kukyagenda mu maaso.

Bavunanibwa emisango egyenjawulo okuli  obutemu ssaako n’emisango egityobola eddembe ly’obuntu.

Oludda oluwaabi lurumiriza nga bano bwebetaba mu kuttibwa kwabamaseeka okuli Sheikh Abdul Kadhir Muwaya, ne Mustapha Bahiga ssaako n’okugezaako okutta  Sheikh Haruna Jemba.