Amawulire

Ogwa Besigye ne Mukaaku teguwuliddwa

Ogwa Besigye ne Mukaaku teguwuliddwa

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ya Buganda road, efulumizza ekiwandiiko ekiyita abajulizi b’oludda oluwaabi mu musango gw’okukuma omuliro mu bantu n’okukola effujjo oguvunaanibwa Dr. Kiiza Besigye ne Samuel Lubega Mukaku basobole okuwa obujulizi bwabwe.

Okusinziira ku kiwandiiko ekibayita ekyafulumiziddwa omulamuzi w’eddaala erisooka, Winnie Nankya, balagiddwa okweyanjula nga December 8th 2023 awatali kulemererwa.

Kino kiddiridde Omuwaabi wa Gavumenti Ivan Kyazze okutegeeza Kkooti nti si mwetegefu kugenda mu maaso na kwongera kuwulira musango guno olwaleero kubanga yali tabakubidde essimu nga bwebava ewala; era n’alowooza nti omuwawaabirwa nnamba bbiri; Dr. Kiiza Besigye tabadde wakujja mu Kkooti leero.

Oludda oluwaabi lugamba nga June nga 14th 2023 abavunanwa nga basinzira mu Kikuubo ku Shawuriyako mu Kampala bakozesa emizindaalo nebayita abantu nti bazuukuke begatte bataase ensi yabwe.”

Ebigambo bino Poliisi yabitwala ng’okukuma omuliro mu bantu okujja okuwamba gavumenti.