Amawulire
Ogwa Lukwago gujulidde neera
Okuwulira omusango gwa loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago nga awakanya omulamuzi omu okumugoba mu ofiisi kugudde butaka.
Kino kiddiridde munnamateeka wa Lukwago Medard Lubega Segona okufuna ebbaluwa eyawandiikibwa nga 3rd March okulaga nti omu ku balamuzi taliiwo.
Segona agamba kano kakodyo ka gavumenti kukandaliriza okuwulira omusango guno n’okulemesa Lukwago okudda mu ofiisi.
kkooti ensukulumu y’agaana okusaba kwa Lukwago okwasooka bweyategeezebwa nti y’agenda mu kkooti enkyamu kwekudda mu yawansi ejulirwamu okuwakanya eky’omulamuzi Steven Kavuma okumugoba mu ofiisi.
Mu December wa 2013, akola nga ssabalamuzi w’eggwanga Steven Kavuma yagoba Lukwago mu ofiisi nga yakazibwayo omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe.
Lukwago y’asooka kugobwa ba kanasla amu November wa 2013 nga 29 baamujjamu obwesige nti emirimu gyaali gimulemye nga era bamulumiriza okukozea obubi ofiisi ye.