Amawulire
Ogwa Namubiru gujulidde
Kkooti enkulu eyongezaayo okuwa ensala yaayo ku kujulira kw’omusawo eyasingisibwa omusango gw’okukuba omwana empiso gyeyali yefumise nga ate alina siriimu.
Ensalawo eno eyongezeddwayo okutuusa nga 28 omwezi guno.
Rose Mary Namubiru awakanya ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 3.
Ono abadde alabiseeko mu kkooti eno mu maaso g’omulamuzi labiseeko maaso g’omulamuzi Albert Frank Rugadya wabula omuwandiisi wa kkooti n’abategezezza nga omulamuzi bwatanamaliriza kusengeka nsaklawo ye.
Namubiru nga aweza egy’obukulu 64 abadde mu kkomera okuva January 2014 .