Amawulire

Ogwa Ssewungu ku byenjigiriza gwongezeddwaayo

Ali Mivule

May 13th, 2014

No comments

children in class

Kkooti enkulu mu ggwanga eyongezezzaayo omusango ogwawaabwa omubaka Joseph Ssewungu ku nsimbi ezissibwa mu byenjigiriza.

Ssewungu yaddukira mu kkooti ng’ewakanya eky’okukendeeza ensimbi ezissibwa mu byenjigiriza okukendeeza.

Olwaleero akiikiridde ssabawolereza wa gavumentio Henry Oluka ategeezezza kkooti nti beetagayo obudde okwetegereza okwemulugunya kwa Ssewungu

Omusango guno kati gwakuwulirwa olunaku lw’enkya.

Gavumenti yasala ensimbi z’ewa buli mwana mu nkola ya bonna basome okuva ku shillings 7,250 okudda ku 6800