Amawulire
Ogwe Bundibuggyo guzzeemu
Okuwulira omusango gw’abantu abateberezebwa okulumba nebatta abantu mu bitundu bye Bundibuggyo kukyagenda maaso nga bano bali 52 okuli n’abakulembeze b’obusinga bwe Rwenzululu 6.
Okuwulira omusango guno kwali kwayimirizibwa omwezi oguwedde nga abamu ku bavunaanwa baagala kuwolerezebwa bannamateeka baabwe ssaako n’okuwakanya eky’okuvunanaibwa mu kkooti y’amaggye.
Omwogezi w’ekibinja ky’amaggye eky’okubiri , Ronald Kakurungu agamba bano bakuvunanibwa emisango gy’obutemu kubanga baasangibwa n’ebissi.
Kati bannamateeka b’abantu bano bali mu kafubo n’omuwaabi wa gavumenti okulaba oba basobola okubeera ne bannamateeka baabwe ab’obwananayini.