Amawulire
Ogw’eyasomola ebyaama bya poliisi tegugenze mu maaso
Okuwulira omusango oguvunaanibwa omupoliisi agambibwa okusomola ebyaama ebyayoleka gen kale Kaihura ng’asalira banne enkwe kwongezeddwaayo.
Omusango guno oguwulirwa mu kyaama wabula tukitegeddeko nti tegugenze mu maaso oluvanyuma lwa munnamateeka wa Ronald Poteri okubulawo nga kigambibw nti yasindikiddwa e Luzira lwa bbanja eriweza obukadde 30
Shaban Sanywa yakwatiddwa ba wanyondo ba kkooti
Poteri avunaanibwa kusomola byaama bya poliisi ekimenya amateeka gatwala abasirikale
Oludda oluwaabi lugamba nti Poteri ono bino byonna ng’abimanyi yagenda mu maaso n’okugaba ebyaama bino eri abantu abakyaamu
Omulamuzi aguli mu mitambo Lilian Buchana omusango agwongezzaayo okutuuka nga 30 omwezi guno