Amawulire
Okubala abantu-abalalu babigaanye, mu kampala batono ababaliddwa
Olunaku olusoose okubala abantu lufundikiddwa kyokka nga tekubuzeemu bujogoli
E Lyantonde abadde katemba , ababala nga bezooba n’abalalu abagaanye okubabala
Bakedde bukeezi nga bulijjo kyokka bano olubatuseemu nebabuna emiwabo
Atwala eby’emiwendo gy’abantu e Lyantonde Muhamad Mwesigwa agamba nti kati basazeewo okudda ku balamu kubanga abalalu kirabika babalemye
E Masaka abakulembeze b’amadiini beebakulembeddemu okubalibwa nga ssabasumba w’essaza lye Masaka John Baptist Kaggwa asabye abantu obutayingiza byabufuzi mu nteekateeka eno bagende babalibwe
Yye atwala obugwanjuba bw’essaza lya Buganda, Godfrey Makumbi agambye nti nga taata bw’alina okumanya omuwendo gw’abaana be okubategekera , ne gavumenti ky’eyagala okusobola okutegekera abantu baayo.
Yye disitulikiti Khadi we Masaka Sheik Swaibu Ndugga asabye abantu bonna okukolagana n’ababala nga baddamu ebibuuzo mu butuufu.
Mu Nyendo Senyange e Masaka, abalondoola okubala babiri bagobeddwa ku lunaku lwebasoose okukola
Amyuka omuwandiisi w’ekitundu kino Muhamad Nfitemukiza agambye nti Sandra Namagga ne Jane Francis Nantongo babadde balina kulondoola kitundu kye Kitovu kyokka nga baakeereye okugenda ku mirimu ekikereyesezza buli kimu
Okuddako mu bitundu bye Arua, abaayo babadde beemulugunyizza ku kubala abatali bannansi
Arua erimu abantu bangi ng’abamu bayindi, aba Congo n’abava mu South Sudan era ng’abatuuze babadde balowooza nti tebalina kubalibwa
Wabula omwogezi w’akakiiko akakola ku kubala abantu Richard Obia agambye nti bawandiisa buli Muntu n’abasaba okuleka abagwiira babalibwe.
Mu Disitulikiti ye Moyo, abasangiddwa mu ma loogi bagaanye okuddamu ebibuuzo mu butuufu ate abamu bapenedde ddala enteekateeka eno
Addukanya loogi emanyiddwa nga Poi travelers lodge Edward Dramani agambye nti tebasobola kukaka ba kasitoma kwogera bibabuuziddwa ng’abasinga obwedda bagamba nti tebamanyi byakuddamu
Okubala kuno era kukomye mu muluka gwe Kali nga wano wakayanirwa aba disitulikiti ye Yumbe ne Moyo
Buli disitulikiti ewerezzaayo ababala abantu
Okuddako mu kibuga, kampala, abantu bangi bakedde kwebuuza lwaki tebannalaba bababala kyokka ng’awamu babalabye
Nga Tutambulira e Luwafu gyetugwiridde ku Deus Arinaitwe abadde abala abaayo era nga tumusanze abuuza bibuuzo naye ng’ababuuzibwa abamu baddamu byebagaala
Bbo nno ababaka ba palamenti balina endowooza za njawulo ku nteekateeka eno.
Abamu bagamba nti ssi mbi naye enteekateeka eno tetegekeddwa bulungi.
Twogeddeko n’ababaka, Joseph Ssewungu ne John Simbwa nga bonna bandowooza nti enteekateeka ebuzeemu
Mu kanyomero ka manya ekibuga kyo n’abakirimu, tetugenda kuva ku mulamwa gw’okubala abantu
Bannakampala bangi bakedde kwebuuza babala nga tebabalabako era nga KCCA ekkirizza nti bannakampala tebabaliddwa nga bwekyabadde kirina okuba