Amawulire
Okubala kuyingidde olw’okubiri- Sekandi bamubaze
Okubala abantu kukyagenda maaso nga w’owulirira bino nga n’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi amaze okubalibwa mu maka ge mu zooni ya Kitunzi B e Lungujja
Ekibinja ky’ababazi 8 bakedde mu maka ga Ssekandi era zigenze okuwera ssaawa 2 ez’okumakya nga batuuse.
Amanda Angella Namukasa yoomu ku bakulembeddemu okubala kuno nga era agamba buli kimu kitambudde bulungi.
E Kayunga abantu beekengedde ebibuuzo ebibabuuzibwa nga bangi balowooza byandibaviirako okubinikibwa omusolo
Ate e Lyantonde, abakulembeze b’ebyalo abamu batiisizza okuzira okubala abantu lwabutasasulwa.
Ate mu disitulikiti ye Mukono, abatuuze mu bitundu bye Seeta, Ngandu ne Wanthony bemulugunya nti mpaawo babazi bebaalabye nga bawulira buwulizi nti okubala kwatandise.
Wabula mu disitulikiti ye Buikwe abaayo kati bebayigga ababala okubabala.