Amawulire
Okugaba ssente z’omuggalo kutandika olwaleero
Bya Ivan Ssenabulya
Okugaba ssente eri ba mufuna mpola, abaliinga bakola mmere ya leero wabula nebakosebwa olwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe, daaki kugenda kutandika olwaleero, mu bibuga ebimu nezi munisipaali.
Kino kikaksiddwa akawungeezi akayise, minisita owekikula kyabantu Betty Amongi, ngakontanye ne minisita we omubeezi Charles Engola eyabadde agambye nti entekateeka bagyongezaayo okusooka okwekennneya ebibalo nabantu abatekeddwa okuyambibwa.
Wabula Amongi atangaziizza nti kirabika yayogedde kino, nga tanamanya nti balina ebibaloi byabanatu emitwalo 10 eranga ku bbo emitwalo 5 babamze okubakakasa, nga ku bano kwebagenda okutandikira.
Buli muntu wakuweebwa emitwalo 10 ku masimu, okuyita mu nkola eya Mobile Money.
Engola yabadde agambye ababaka ku kakiiko akalondoola emirimu gya gavumenti, egyokulwanyisa ssenyiga omukambwe nti abakozi baabwe batono, era kijja kwetagisa wiiki endala emu okwetereeza obulungi.
Mu ntekateeka eno gavumenti yasubiza okutuuka ku bantu akakadde 1 mu maka emitwalo 50, era olukiiko lwaba minisita luliko ebibinja byabantu 16 bebakakasa okuyambibwako.