Amawulire
Okugema Poliyo mu Kampala kutandise
Bya Moses Ndaye,
Omulimo gwókugema abaana endwadde eya polio mugombolola 5 eza kampala kutandise leero
Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu abaana nga abasoba mu mitwalo 35 mu 6000 bebasuubira okugema abali wansi wemyaka 5.
Wabula minisitule y’ebyobulamu erabudde abantu abatagoberera mateeka abagaana abaana mu bugenderevu okugemebwa.
Program Manager w’ekitongole kya National Expanded Program on Immunization (UNEPI) Dr. Alfred Driwale agamba nti omulimo guno gugenda kutambula nju ku nju mu kaweefube w’eggwanga okumalawo obulwadde buno.
Agamba nti obukadde bwa sillingi nga 647 ze zigenda okukozesebwa okulaba nti abaana bonna bagemwa mu kampala.
Mu kugema poliyo okwasembayo mu ggwanga lyonna disitulikiti okuli Mubende, Kassanda, Wakiso, Mukono ne Kampala zasuubwa olw’ekirwadde kya Ebola.