Amawulire
Okuggala ebizimbe- Musango gwa KCCA
Amadduuka ku kizimbe kya Forest Mall e Lugogo gakyaali maggale oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA okuggala ekizimbe kyonna.
Ku mulyango gwaakyo kussiddwaako ekipande kya KCCA era nga n’abasuubuzi tebateganye kulinnya kigere.
Abakungu ba KCCA abakola ku by’obuzimbi olwaleero besozze akafubo n’abaddukanya ekizimbe kino okulaba ng’ebikibulako biterezeebwa
KCCA ennaku zino ebadde eggala ebizimbe byonna ebitalina bisanyizo byonna era nga bingi biggadwa
Bbo nno ababaka okuva mu kampala bagamba nti kino tekyandibadde kibi naye kirimu enguzi
Ababaka okuli Nabilah Ssempala ne Moses Kasibante bagamba nti kikyaamu KCCA okuwooza abantu abakolera ku bizimbe ng’ate ekimanyi nti biriwo mu bukyaamu
Bagusalide KCCA olw’obutalondoola bizimbe bino nga bizimbibwa ekivaako ebizibu byonna