Amawulire
Okugula ku batembeeyi- bulungi bwansi kye kibonerezo
Abantu musanvu abakwatiddwa nga bagula ku batembeyi kkooti ebalagidde bakole bulungi bwa nsi.
Ku bano kuliko omuyizi Salim Musoke eyasangiddwa ng’agula sitokisi.
Omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Erias Kakooza bano abalagidde okukola essaawa emu n’ekitundu eya bulungi bwa nsi nga basindikiddwa KCCA gy’ewa kasasiro mu kiteezi
Balabuddwa obutaddamu kuzza musango guno kubanga ekibonerezo kyakusingawo ssinga bageza nebaddamu
KCCA yatandika ekikwekweto ekikwata abagula ku batembeeyi mu kawefube w’okumalawo abatembeeyeza ku makubo.