Amawulire

Okukuba ekyeeyo- etteeka lijja

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Rukutana

Gavumenti eri mu nteekateeka ezisembayo okubaga amateeka aganagobererwa mu kulungamya abantu abatwaala bannayuganda okukuba ekyeeyo ebweru

Kino kizze wakati mu kwemulugunya nti bannayuganda gyebasindikibwa abasinga batulugunyizibwa nga batuuka n’okufiirayo

Minisita omubeezi akola ku nsonga z’abakozi Mwesigwa Rukutana agamba nti gavumenti eteekateeka okusisinkana abakulembeze mu mawanga omuli bannayuganda bano bateese kun kola entuufu ey’okugoberera.

Rukutana abadde ayanukula babaka mu palamenti abagamba nti gavumenti tekoze kimala kuyamba bantu baayo abayiiyiiza ebweru

Rukutana agambye nti balina kkampuni 29 zokka ezikkirizibwa okutwala abantu ebweru w’eggwanga ng’ezisinga ezitulugunya abakozi tezeewandiisa kale nga ziba nzibu okulondoola

Yye omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara agambye nti bino byonna birina okuva mu bigambo bissibwe mu nkola olwo bannayuganda abayiiya obulamu lwebanataasibwa