Amawulire
Okulongoosa Namugongo kutandise
Ku biggwa by’abajulizi e Namugongo, okulongoosa buli wamu kutandise ng’ebula mbale ol’abajulizi lutuuke
Ku kiggwa ky’aba katolika, okulongoosa ebifo ebiyitamu abantu kugenda mu maaso n’okugogola emyaala
Bwana mukulu w’ekigo kye Namugongo Faaza Emmanuel Kimbowa agamba nti olunaku Mulindwa werunatuukira ng’ekiggwa kitemagana nga mukene
Faaza agamba nti era bassizzaawo kabuyonjo ezamangu okuyambako okukuuma obuyonjo
Buli nga 3 omwezi gwomukaaga abakirisitu bajjukira abajulizi abafiirira eddiini