Amawulire
Okunonyereeza kumivuyo ku Entebbe express highway
Akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo kalagidde abantu basatu abaliyirirwa mu kuzimba oluguudo lwa Entebeb Express Highway oluyita mu ttaka lyabwe bakeberebwe endaga butonde mu nkola ya DNA.
Muhammed Kamoga, Hussain Mugumya ne Richard Ssempagala bonna abatuuze be Nakigalala bategezezza akakiiko nti tebajjukira linya lya jajjabwe sso nga balina ebyapa ebiraga nti ettaka lyabwe nebafuna obuwumbi buna ku ttaka ly’okukibira kye Nakigalala.
Akakiiko kano kakubirizibwa omulamuzi Catherine Bamugemerirwe era kakitegeddeko nti ekitongole ky’ebyenguudo kyakasasanya obuwumbi 83 mu kuliyirira bananayini ttaka abasoba mu 1800 ewazimbibwa oluguudo lwa Entebbe Express Highway.