Amawulire
Okusunsula mu bakwatiddwa e Bundibuggyo kuwedde
Amaggye gamalirizza okusunsula abakwatiddwa ku by’obulumbaganyi obwakoleddwa mu disitulikiti okuli Bundibugyo, Kasese ne Ntoroko obwalese nga abasoba mu 100 nga batiddwa.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri Maj. Ronald Kakurungu agamba kati basigazza abakwate 65 kwabo 84 abakwatiddwa e Bundibugyo ne Ntoroko nga era baasobodde n’okuzuula emmundu 3.
Yo poliisi ye Kasese nayo eriko omuwendo gw’abantu abatanategerekeka muwendo gwebali mu kwekenenya.
Ate ye ssenkagale w’ekibiina kya FDC Maj. Gen Mugisha Muntu ayagala palamenti eteekewo akakiiko aketengeredde okunonyereza ku bulumbaganyi obwakoleddwa e Bundibugyo, Kasese ne Ntoroko omwafiiridde abawera.
Abantu abali eyo mu 100 bebafiiridde mu bulumbaganyi gavumenti bwegamba nti bwamawanga wakati wa Bakonzo ne Bamba okwabaddeyo wiiki ewedde.
Muntu agamba poliisi n’amaggye balina okwegendereza ebikwekweto byebakola kubanga ate byandisajjula embeera.
Muntu agamba UPDF esaanye okusooka okutegera bulungi ekigenda maaso mu Bitundu bye Rwenzori nga tenakola bikwekweto byonna.