Amawulire
Okuteeka emikono ku ndagaano z’amafuta ezisembayo
Bya Ritaha Kemigisa ne Benjamin Jumbe
Ba nekolera gyange basabye gavumenti nti babeere begendereza ku nkwata ya ssente zamafuta.
Bino webijidde ngolwaleero enjuuyi zonna zigenda kuteeka emikono ku buguzi nobutunzi, oba Final Investment Decision FID ne kampuni zamafuta okuli Total energies ne China National Offshore oil company (CNOOC).
Omukolo guno guli ku kisaawe e Kololo nga gwetabiddwako omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni n’omumyuka womukulembeze owa Tanzania Phillip Mpango.
Okusinziira ku akulembera Private sector Foundation Uganda nga ye Dr Elly Karuhanga, agambye nti amafuta gakaseera buseera era kyamakulu gavumenti ssente ezikozese bulungi okuseesa mu nkulakulana egasiza awamu.
Mungeri yeemu abomukago gwa Advocates Coalition for Development and Environment (ACODE) batenderezza Uganda olwokuyingira mu lubu lwamawanga agasima nokutunda amafuta.
Ssenkulu wa ACODE Dr Arthur Bainomugisha agambye nti kuno kugenda kubeera kusenvula ekigere, okwolekera enkulakulana.
Wabula agambye nti bbo banakyewa bajja kwongera okuteeka gavumenti ku nninga ku bwerufu nensonga endala.