Amawulire
Okutegeka ebifo ebirondebwamu obukiiko bwábakyala kuwedde
Bya Prossy Kisakye ne Juliet Nalwooga,
Akakiiko ke byokulonda kamaliriza entekateeka eyokulamba ebifo ebirondebwamu ku mutendera gwe kyalo, emiruka, amagombolola ne ku disitulikiti mu kwetegekera okulonda kwa bakyala.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, ssentebe wa kakiiko kano, Simon Byabakama,agambye nti akakiiko kamaliriza okutegeka ebifo bino nga muno 146 District, ebibuga 2,191, Amagombolola 10,6923 ne byalo 71,255.
Akakiiko ak’ebyókulonda mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kifulumiza ebinagoberwa mu kamyufu ak’okulonda obukiiko bwa bakyala okuvira ddala ku mutendera ogwe kyalo.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kya NRM ekye byókulonda, Ssentebe wa kakiiko kano Dr Tanga Odoi, agambye nti bakutandika nókwekenenya enkalala zábalonzi babwe okuvira ddala ku byalo, emiruka, amagombolola ne ku disitulikiti ngennaku zomwezi 6th-9th june.
Ngennaku zomwezi 10th-13 June bakudamu okuwandiisa abakyala bonna bannakibiina kya NRM, ngennaku zomwezi 14th-16th june abagala okuvuganya ku bukiiko bya bakyala bakutekayo okusaba kwabwe, kakuyege eri abo abanaba basunsuddwa wakutandika nga 17th-19th june.
Ngennaku zomwezi 20th June bakuvaayo ne register eyawamu nóluvanyuma okulonda kubeewo ku mutendera ogwe kyalo. Nga 21st-26th June, akakiiko ke byokulonda kakuwuliriza okwemulugunya ku binaba bivudde mu kulonda.
Ate ngennaku zomwezi 22rd-26th june akakiiko ke byokulonda ku mutendera gwe gombolola kakulangirira abanakwatira ekibiina bendera , nga 27th June -1st July ekibiina kyakwanjula eri akakiiko ke byokulonda akeggwanga lyonna abantu babwe bebanaba bawanzeko eddusu