Amawulire

Okuwaayo emmudu kyeyagalire kugenda kuggalwawo

Okuwaayo emmudu kyeyagalire kugenda kuggalwawo

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Musasi waffe

Abebyokwrinda, okuli poliisi namagye balangiridde nti entekateeka eyokuwaayo emmundu kyeyagalire bagenda kujiggalaow nga 17 Okitobba 2021, oluvanyuma abagenda kutekamu eryanyi.

Eno yentekateeka eyomulundi ogwokusattu, mu kitundu kye Karamojja nga yalubirira okulwanyisa obubbi bwente nokutebnkeza ekitundu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Michael Longole, bino abitegezezza bannamwulire mu disitulikiti ye Moroto.

Longole agambye nti obudde obwabaweebwa bubadde bumala, emyezi 3 okuwaayo emmundu zebakukulidde.

Agambye nti ababbi bente basse abantu 125 mu bbanga eryemyezi 11, okuva mu Novemba womwaka oguwedde Okitobba womwaka guno weyatukidde.

Kati ebykwerinda byongedde okunywezebwa mu kitundu kino, ngabakuuma ddembe batandise okulawuna wansi nemu bbanga