Amawulire
Okuwandiisa abanavuganya mu kulonda kutandise olwaleero
Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko kebyokulonda, olwaleero kagenda kutandika okuwandiika abanavuganya ku bifo byobukulembeze, agenda okubeera okulonda okwenvunulabibya muzi gavumenti ezebitundu.
Enekateeka eno egenda kukulungula ennaku 2, muzi disitulikiti 110 okwetoloola Uganda.
Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama mu bubaka bwe, obukulembeddemu entekateeka eno asabye abagenda okwetaba mu kwewandiisa okugoberera amateeka gabatwala ebyobulamu okutangira ssenyiga omukambwe.
Oluvanyuma lwokuwandisbwa, bagenda kuwenja akalaulu okuva nga 2 okutukira ddala nga 14 Decemba 2021, ate okulonda kwaba kansala nabalala kuberewo nga 15 Decemba, okulonda ssentebbe wa disitulikiti ye Kayunga kujja kuberawo nga 16 Decemba, omwaka 2021.
Mungeri yeemu, akakiiko kasabye abakozi baako okukoera mu budde.
Omuwandiisi wakakiiko kebyokulonda Leonard Mulekwa agambye nti batekeddwa okuggulawo ku ssaawa 3, batandike okukola emirimu, awatali kwebulanakanya kwonna nokujja ekikerezi.