Amawulire

Okuwulira okwetonda kwa basibe e Masaka gutandise

Okuwulira okwetonda kwa basibe e Masaka gutandise

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omumyuka wa Ssaabawaabi wa gavumenti George William Byansi, akulembeddemu enkambi egenda okuwuliriza emisango gya basibe mu kkooti ekkulu e Masaka abakkiriza emisango gyabwe bakenderezebweko ku kibonerezo ekimanyiddwa nga plea bargaining mu lungereza.

Enkambi eno yatandise lunaku lwajjo nga abasibe bamanyisibwa ku bikwata kunkola eno eya plea bargaining.

Omumyuka wa DPP yategeezezza abasibe nti enkola eno egenderedde kuggyawo mugotteko mu makomera g’e Masaka agalimu obulwadde bw’akafuba bungi.

Yategeezezza nti omugotteko gujja ne bisomooza naddala mu byóbulamu, eddembe ly’obuntu n’okusaasaanya ssente.

Yye Omulamuzi Omukulu, Owek. Justice Victoria Katamba, ategeezezza nti omuwendo gw’abasibe abali ku limanda mungi okusinga ogw’abasingiddwa emisango, n’akkaatiriza obwetaavu obw’amaanyi obw’okwongera amaanyi mu kuwuliriza emisango gya bano basobole okulamulwa amangu.