Amawulire
Okuwulira omusango gwa Besigye ne Mukaaku tutandise
Bya Ruth Anderah,
Okuwulira omusango ogwaggurwa ku Dr Kiiza Besigye ne Lubega Mukaku ogwokukuma mu bantu omuliro olw’ebbeyi y’ebintu eyali yekanamye kutandise leero ku Court y’okuluguudo Buganda Mumaaso g’omulamuzi wa Kooti y’eddala erisoka Asuman Muhumuza.
Aduumira ebikwekweto bya Poliisi ku Central Police Station mu Kampala David Namanya yasoose okuwa obujulizi, bwategezezza Court nga Besigye ne Mukaku bwebakuma mu bantu omuliro nga 14/06/2022 ku kizimbe kya Qualicel ne mu bitundu bya mu massekati g’oluguudo.
Ono yagenda nga agamba abantu nga’kozesa ekizindaalo bekalaksse nga bawakanya Government olw’eokulinnya kw’ebbeyi y’ebintu.
Eria Lukwago yakikilidde abawawabirwa nga munnamateeka wabwe.
Omuduumizi ategeezezza ng’ebikrwa by’abano bwebyaviirako akalippagano k’ebitundu mu kitundu ekyo n’okulemsa emilimu ekigkolerwa mu kitundu ekyo okutambula obulungi.
Ono ategeezeza nga kawefube wa Poliice bano okubatangira okulemesa emilimu okutambula Besigye ne banne bamulemesa nga besibira munda mu motoka mwebaali batambulira.
Omuduumizi agamba nti embera bweyatuuka ku nyooge, kwekulagira motoka yabano esikibwe netwalibwa ku kitebe kya CPS nga n’okutuusa kati wekuumirwa ng’ekizibiti mu musango guno.
Wabula afande Namanya asanze akaseera akazibu okukakasa Court ebadde ekubyeko obugule oba nga ddaala byayogedde mu Court byebiri mu statement gyakola ku lunaku ebyo byonna lwebyaliwo.
Munnamateeka wa bano Erias Lukwago asabye aAfande Nahamya okutegeeza Court ekifo ekituufu abawawabirwa webaddiza omusango, engeri gyyafunamu amawulire agakwata ku babawabirwa nebilala.
Ivan Kyeyune, ye muwabi wa Gavuenti omukulu mu musango guno.