Amawulire

Okuwulira omusango gwábavunanibwa obutujju kudamu leero

Okuwulira omusango gwábavunanibwa obutujju kudamu leero

Ivan Ssenabulya

January 31st, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abavubuka bana abagambibwa nti beetaba mu kulumba konvooyi y’omulamuzi omukulu Flavian Zeija, okutta abaserikale ba poliisi basatu ku poliisi y’e Busiika, okutta abantu baabulijjo abawerako n’okunyaga emmundu basuubirwa okweyanjula mu Kkooti enkya ya leero.

Abana bano basuubira okulabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Sarah Tusiime.

Bano kuliko Katende Moses, Faisal Musana, Abudallatif Balikoowa ne Adam Weduma.

Oludda oluwaabi lugamba nti abana bano n’abalala nga 31st/October 2022 baalumba poliisi y’e Busiika ne bakuba abaserikale ba poliisi basatu amasasi; okwali AIP Alex Wagaruka, abaserikale ba poliisi; Musa ne PC Odama Steven .

Bano era bavunaanibwa omusango gw’okubeera mu kibiina ky’abatujju.

ng’oludda oluwaabi olukulembeddwamu, Keko Joan lugamba nti baakkiriza mu lujjudde nti bammemba ba ADF, ekibiina ky’abatujju.