Amawulire
Okwemulugunya ku teeka lye’bisiyaga kutandisse okuwulirwa mu kooti
Okuwulira omusango gw’ebisiyaga ogwawaabwa bannakyeewa nga beemulugunya ku tteeka eryayisibwa eriwera ebisiyaga kutandise olwaleero mu kkooti etaputa ssemateeka .
Bannamateeka abatali bamu nga abakulembeddwaamu Ladislus Rwakafuzi ne Caleb Alaka basabye kkooti okusazaamu etteeka lino kubanga lyayisibwa ababaka ba lubatu .
Bano bagamba nti ensonga eno bagitegeeza sipiika wa palamenti kyokka n’atakifaako.
Okuwulira omusango guno kwongezeddwaayo okutuuka olunaku lw’enkya nga ssabawolereza wa gavumenti lw’agenda okunyonyola ebisingawo ku tteeka lino.