Amawulire

Okweyongera kw’obungi bw’amasimu ga sereeza kwakuletawo okweyongera kw’omusolo oguva ku mayengo ga internet

Okweyongera kw’obungi bw’amasimu ga sereeza kwakuletawo okweyongera kw’omusolo oguva ku mayengo ga internet

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2023

No comments

Bya Moses Ndhaye. Okweyongera kw’obungi obw’amasimu aga seereza ku katale kitunuulidwa nnyo ng’ekigenda okubeera ekiggula luggi kwokweyongera mu bungi bw’omusolo ogukunganyzibwa mu gwanga.

Makcnon Kabalore okuva mu Kampuni y’amasimu eya MTN agamba nti obungi bw’amasimu gano kyakuviirako okweyongera kw’enkozesa y’amayengo ga internet.

Buli mayengo agakozesebwa aga internet gyebanakoma obungi n’ensimbi ezisoloozebwa mu  musolo okweyongera ekijja okuviirako okukula mu by’enfuna.

Wabula agamba nti kati ekirindiriddwa, bebavunnyiizbwa okubaga amateeka okutekawo ago aganasobozesa okweyongera kw’enkozesa y’amayengo okukulakulanya ebyenfuna.

Abadde ku mukolo aba kamuni ya Infinix kwebatongoleza essimu ekika kya Hot 30 series ku katale ka Uganda wano mu Kampala.

Okusinziira ku bibalo by’ekitongole ekivunanyizibwa ku biwerezebwa ku mpewo ki UCC, omuwendo gw’amasimu ga seereza gagenda geyongera mu bantu buli mwaka nga guvidde ku bukadde 4 n’ekitundu bwegwali  mu 2018 okutuuka ku bukadde obusoba mu 10 , omwaka 2022 wagwereddeko.

N’abantu abakozesa amayengo ga Internet nagwo gweyongedde omwaka oguwedde wegugwereddeko okutuuka ku bukadde 13 n’emitwalo 90.