Amawulire
Ebyobulimu, ebyobulamu, amafuta byebikulu
President museveni agamba nti keekadde abantu okudda kun kola y’okulima ebilime ebingi omulundi ogumu okumalawo obwavu okuva ku mutendera gwa wansi.
Mu bubaka bwe eri eggwanga presidenta gambye nti enkola eno gy’ekozeseddwa esobodde okuyamba abantu okwejja mu bwavu ng’eno asonze ku mawanga ga China enkola bweziti gyezivuddemu ebibala.
President era agambye nti gavumenti yakuyambako ng’ewa abantu ensigo kyokka nga kiyinz aobutasoboka okutuuka ku buli omu oluvanyuma w’okubalamu nga kyetaagisa obuwumbi 800 obutaliiwo mu kadde kano.
President era ayongedde okuvumirira enkola y’okuvuba obwenyanja obuto ky’agambye nti kyekisinze okukosa ebyenyanja ebyandibadde bivaamu ensimbi empitirivu okuvaamue nsimbi.
Mu by’obulamu president agambye nti obuzibu obungi businga kubeera mu kulwnayisa omusujja gw’ensiri ogutkaaye kyokka ng’asuubizza nga gavumenti bw’egenda
owkongera amaanyi mu kugaba obutimba bw’ensiri okuyambako.
President mu byobulamu era awakanyizza eky’abasajja okuzaalisa abakyala n’agamba nti kino kyekisinze okulemesa abakyala okugenda mu malwlairo naddala mu byaalo.
President amalirizza na kulumba abo abalowooza nti buli gavumenti ky’etesaako kiba kinatuukirira ng’agamba nti ssi bweguli
Teyelabidde kulumba lupappula lwa mawulire olwa the dailymonitor olw’okumuwandiikangako ebikyaamu era ebimalamua bantu essuubi.
Mu kusooka nga president tannaba kwogera ababaka abali ku ludda oluvuganya gavumenti bakanze nga bwebabadde bagenda okulemesa okwogera kwa president olw’okugaana okuyita abakulira Nathana Nadala mafaabi.
Kyawalirizza spiika Rebecca Kadaga okwetonda era nga yeeyabakkakanyizza okuyiongira mu kwogea kw’omukulembez w’eggwanga
Okwogera kwa president mpozzi era kuzze ng’okusoma ambalirira y’eggwanga kulndirrwa era nga kwakubaawo ku lw’okuna lwa ssabiitie jja