Amawulire
Olukiiko lwa baminisita mu mawanga agokumuliraano lutudde mu Kampala kunsonga ze Ebola
Bya Prossy Kisakye,
Olukiiko lwa baminisita mu mawanga agabusuka nsalo lutuula leero mu kibuga kamapala bagatte amagezi mungeri yókulinya kunfeete ekirwadde kye Ebola.
Okusinziira ku mwogezi wa minisitule y’ebyobulamu Emmanuel Ayinebyoona, olukiiko luno lugenderedde okuvaayo nobukodyo obw’okukyusa embeera ku bulwadde buno obuvirideko abantu 19 okufa nga 54 bebakakwatibwa obulwadde buno songa, 20 bawonye ate 14 beebakyali ku bitanda.
Ainnebyonna agamba nti olukiiko lwa leero lugenda kwetabwamu Sierra Leone, Guinea ne Liberia ezayisibwa obubi enyo obulwadde bwa Ebola wakati wa 2014 ne 2016 wamu n’abakulembeze okuva mu kibiina kyebyobulamu ekyensi yonna ki World Health Organization Africa okuwagira