Amawulire
Olukiiko lw’abalamuzi lugguddewo
Emirimu gyakukosebwa mu kkooti enkulu ne kkooti endala ezokuntikko olw’olukungaana lw’abalamuzi oluggulawo olunaku olwaleero.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa okuggulawo olukungaana luno nga era lwakugalwawo ku lwokuna.
Olukungaana luno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti omulimu gw’essiga eddamuzi mu kukyuusa abantu ba Uganda.
Omwogezi w’essiga eddamuzi Erias Kisawuzi agamba Olukungaana luno abalamuzi ssibakukozesa mpapula kubanga buli mulamuzi wakuweebwa laptop ey’obwerere buli omu.
Guno mwaka gwakubiri ogwomuddiringanwa nga olukungaana luno lukwatibwa nga eggwanga terilina ssabalamuzi w’eggwanga nga era ensonga eno yakubeera ku mwanjo ku bigenda okuteesebwako.