Amawulire

Olukiiko olutaba abavubuka mu bibiina byóbufuzi ebyenjawulo lutongozebwa

Olukiiko olutaba abavubuka mu bibiina byóbufuzi ebyenjawulo lutongozebwa

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kya Netherlands Institute for Multiparty Democracy (NIMD) kitongozza olukiiko lw’abavubuka olwa Multiparty Youth Forum olugendereddwamu okuleeta eddoboozi ery’awamu eri okusoomoozebwa kwebasanga.

Olukiiko luno lulimu abakulembeze b’abavubuka okuva mu bibiina by’obufuzi omusanvu ebiri mu palamenti, aba-National Youth Council naba University National Students Council.

Bwabadde ayogerera mu kutongoza olukiiko luno, Frank Rusa akulira ekibiina kya NIMD wano mu ggwanga, agambye nti olukiiko lwa bavubuka lugenda kuwa omusingi n’ebibiina by’obufuzi ebitonotono okuleeta ebirowoozo ebirungi ebiyinza okuyingizibwa mu nkola za gavumenti.

Wabula alabudde abakulembeze b’abavubuka obutakozesa lukiiko luno okulwanira ebifo n’ensimbi.