Amawulire
Olukiiko olwagoba meeya likyaamu
Essiga eddamuzi litegezezza ng’ekiwandiiko kya kooti ekyaali kiyimiriza olukiiko lwa bakansala olwagoba loodi Meeya bwekyali mu mateeka.
Essiga likakasizza kino mu bbaluwa gyebawandikidde ssabalungamya wa gavumenti mu nsonga z’amateeka nga 12 December 2013.
Omuwandiisi wa kooti ategezezza nti ekiwandiiko kino bwekyafulumizibwa wakati w’essaawa bbiri n’edakiika 45 n’ebbiri nedakiika 58 essaawa ezikkirizibwa mu mateeka okuweerayo ekiwandiiko nga kino.
Agamba enjuyi zombi okuli ofiisi ya ssabawolereza wa gavumenti n’ekitongole kya KCCA zakiikirirwa banamateeka baabwe.
Kino kimazeewo okusika omuguwa ku maloboozi agagamba nti ekiragiro kikyaamu ate abalala nga bagamba nti kituufu.
Mungeri yeemu omuloodi wa Kampala Erias Lukwago ategese olukungana lwe bekikwatako bonna okulaba kiki kyebazzaako wiiki ejja.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Wakaliga, loodi meeya ategezezza nti wakuyita ababaka ba palamenti okuva mu kampala n’emirirano, ba meeya bazi division, ba kansala, abakulira eby’entambula wano mu kampala n’obutale nga kwogasse nabalala bangi okuteesa ku kiddako.